icon
Have any questions?
Click on my no.: 0706974148
Lyrics

Osinze Lyrics – Lydia Jazmine ft Streams Of Life

Osinze olina ebintu by’okola ebinkuba
Nasibawo ne seŋŋenge laba naye omukutula n’onkima
Weewaawo omukwano gwo teguliiko na kkomo
Kale gumpalula siigaane togukaka nedda tokola mbale
Kababe abayivu ennyo abaakomayo
Gwabalema okuzuula
Nemeddwa okukimanyiira nti gwe Mukama
Onjagala nga bwendi
Wadde ensi yo yanvaako dda

Osinze
Osinze, tonsasuza mukwano (hmmm)
Bingi nze by’ompadde nsiima (oh Mukama aah)
Onsingira emikwano
Osinze, osinzeeko ku balungi abanzaala (hmmm)
Baafuba naye nga, obulamu gwe yabumpa
Osinze
Osinze, tonsasuza mukwano (Mukama)
Bingi nze by’ompadde nsiima (obimpadde)
Onsingira emikwano (osinze)
Osinze, osinzeeko ku balungi abanzaala (osinze)
Baafuba naye nga, obulamu gwe yabumpa

Osinze
Osinze
Hmmm Mukama, obasinga
Eeeh

Waguma bakuteere
Wangulira eddembe ogwo mu love
Wakikola mba nze
Kyandizitoye nnyo ekyo ekikompe (weebale)
Weebale kunjagala butakoowa (hmmm)
Mazima weebale kuguma
Kirungi nze akulina ne bwe boogera
Baleke nze nkweyagalira (hmmm)
Mukama, nze omukwano gwo teguntama
Nkulabye, nga byessisobola okola
Mazima weebale kuguma

Waguma bakuteere (weebale nnyo)
Wangulira eddembe ogwo mu love (weebale eeh)
Wakikola mba nze
Kyandizitoye nnyo ekyo ekikompe
Weebale kunjagala butakoowa (omezze n’oluma)
Mazima weebale kuguma (weebaale)
Kirungi nze akulina ne bwe boogera (abalabe n’okuba)
Baleke nze nkweyagalira (weebale)
Mukama, nze omukwano gwo teguntama (omukwano gwo teguntama Yesu)
Nkulabye, nga byessisobola okola
Mazima weebale kuguma

Osinze
Osinze, tonsasuza mukwano (kankwagale Ssebo)
Bingi nze by’ompadde nsiima (leka kankwagale dear)
Onsingira emikwano (osinze)
Osinze (omezze n’oluma)
Osinzeeko ku balungi abanzaala (abanjooga bandabye)
Baafuba naye nga, obulamu gwe yabumpa (osinze)
Osinze (osinze, osinze)
Osinze, tonsasuza mukwano (Mukama)
Bingi nze by’ompadde nsiima (obimpadde)
Onsingira emikwano (osinze)
Osinze (munnange)
Osinzeeko ku balungi abanzaala (n’ebyalema obigonzanga)
Baafuba naye nga, obulamu gwe yabumpa

// width=
I develop Apps, websites, graphics, software and also teach computer.