icon
Have any questions?
Click on my no.: 0706974148
Lyrics

Kankutendereze Lyrics – King Saha

Yooo
Yeaaah
Yeee

Kankutendereze Ssebo
Omutonzi ali waggulu
Neeyanze, nsiimye Katonda wange
Nze ani ali kino kyendi?
Nze ani ayogera ne bawulira?
Katonda munene, alina amaanyi!

Nga lwaki seeyanza?
Nga nali nkaaba n’annyamba
Mba mulyazaamanya obutajjukira gye nava
Nali mwavu nnyo!
Nali musiiwuufu!
Nga ne bw’onsuula ku luguudo kalooli tezindya
Katonda yannyamba ah
Kati ndabikako, ndi muntu
Ku mikolo bampita
Mpitibwa Saha buli gye mpita

Kankutendereze Ssebo
Omutonzi ali waggulu
Neeyanze, nsiimye Katonda wange
Nze ani ali kino kyendi?
Nze ani ayogera ne bawulira?
Katonda munene, alina amaanyi!

Nze leka mmuyimbire
Oyo Mukama atalemererwa
Yawulira emiranga gyange
Allah n’annyanukula
Ntambula era mmanyi
Nti security ngirina
Saagala bukuumi bwammwe
Katonda wange ammala
Ate oba yampisa ewakyamu
N’amponya abadui
Oyo asinga amaanyi
Y’asinga ebitiibwa
Afande asinga obuyinza
Y’asinga ekitiibwa
Hosanna, Katonda wange ommala

Kankutendereze Ssebo
Omutonzi ali waggulu
Neeyanze, nsiimye Katonda wange
Nze ani ali kino kyendi?
Nze ani ayogera ne bawulira?
Katonda munene, alina amaanyi!

Nzikiririza mu gwe wekka
Katonda wa bakatonda
Ssikkiriza bw’oba ogaanye
Sso sigaana bw’oba okkiriza
Gw’ogaana, gw’osalawo
Mbeere kyendi kati
Kati nga lwaki nkuvaako?
Tekirisoboka!

Kankutendereze Ssebo
Omutonzi ali waggulu
Neeyanze, nsiimye Katonda wange
Nze ani ali kino kyendi?
Nze ani ayogera ne bawulira?
Katonda munene, alina amaanyi!

Big up on yourself Sir Mesach Semakula
Yoo, yeah

Ndi mu maaso g’abalabe bange
Mukama ntaddewo emmeeza
Mukama oli ngabo yange, nkusaba ntaasa
Seekaangenga siityenga, nga wooli
Seetaagenga siikaabenga, nga wooli
Ndi mu maaso g’abalabe bange
Mukama ntaddewo emmeeza
Mukama oli ngabo yange, nkusaba ntaasa
Seekaangenga siityenga, nga wooli
Seetaagenga siikaabenga, nga wooli

// width=
I develop Apps, websites, graphics, software and also teach computer.