icon
Have any questions?
Click on my no.: 0706974148
Lyrics

Nkulowoozako Lyrics – Eddy Kenzo

Amazima ndaga omutima
Omutima ogwa zaabu maama oh
Nze gw’olaba nfubye okukola
Buli kalungi ne nkakuwa nfuuke balo
Okwagala kuli eno kunsumbuwa naye
Gwe omutima gwo musanyufu
Nange njagala mmanye w’osula
Tubiteekemu obugunjufu
Obudde buliyitawo nga weekoza
Love njagala nkuwe mu bujjuvu
Mu mazima lwaki
Tonsaasirako naye naawe?
Oyagala nkole ntya kale?
Nga weebuusa, tewenyeenya!

Nkulowoozaako
Lwakuba maama obeera weecanga
Nkumissinga nnyo nnyo nnyo
Ekinnuma lwaki oba ogaana?
Obudde bw’ekiro
Sikyebaka mbeera neekyusa
Luliba lumu n’abasezi balimpulira
Mukwano nnyamba ah

Ne bwe nkuleka
Ogenda n’onyoola amaaso
Era nnyabo neganziza
Katonda muka
Eyakuteekako face
Buli lwe nkulaba ne nnyumirwa
Amaanyi g’omukwano ago ge nteekamu, eh
Singa naawe ogenyigiramu
Gwe bw’obeera eyo obeera mulamu
Nze bwe mbeera eno mbeera mulalu
Yii naye maama okwagala kubi
Kati laba nzenna binsuza bubi
Ndayira n’ommatira
Siryekyusa my girl

Nkulowoozaako
Lwakuba maama obeera weecanga
Nkumissinga nnyo nnyo nnyo
Ekinnuma lwaki oba ogaana?
Obudde bw’ekiro
Sikyebaka mbeera neekyusa
Luliba lumu n’abasezi balimpulira
Mukwano nnyamba ah

Precious girl for me
Walungiwa bulala listen to me
Nkusaba obakyawenga bali
Ontuuze mu mwoyo nze mmanyi biri
Oh my friend
Sigala nange oleme okwejjusa
Abalala bate
Nze bwe mbeera naawe sijja kwetuga
Omukwano gumpe maama
Gumpe baby, gumpe sweet
Omukwano gumpe darling

Nkulowoozaako
Lwakuba maama obeera weecanga
Nkumissinga nnyo nnyo nnyo
Ekinnuma lwaki oba ogaana?
Obudde bw’ekiro
Sikyebaka mbeera neekyusa
Luliba lumu n’abasezi balimpulira
Mukwano nnyamba ah

// width=
I develop Apps, websites, graphics, software and also teach computer.